Omulundi ogw’okubiri ogw’olunaku lw’ebirogologo nate lwakubaawo nga lumu, mukulukusabitungotungo, (01/10/2015). Olunaku lw’ebirogologo olw’omwaka guno terutunuulidde kirala wabula “Ebirogologo ku nfeete.”
Ekigendererwa kyakuwa mwangaanya abalwadde b’ebirogologo; okwekebeza oba nga ebirogologo birinnyiddwa ku nfeete, bwekitaba ekyo tuddemu okukwata eby’okulwanyisa. Okusobola okukola kino, n’obwegendereza tutaddewo okwekebeza mu lufuntifunti “The Urticaria Control test (UCT)” nga kwekakasiddwa okukozesebwa mu by’obujjanjabi obunaayamba ku nzijanjaba y’ebirongologo esinga okuba ennungi.
Mu ngeri y’emu enkola eno ey’okwekebeza (UCT) tugikuteeredde ku mutimbagano ku kibanja http://urticariaday.org/uct/face-upload/ era tubakubiriza okugweyamba.
Okukubaganya ebirowoozo ku bivudde mu kukeberwa kwo n’okugabanya obumanyirivu oba by’oyiseemu ne bannaffe abalina ebirogologo era n’ababalumirirwa kijja kuganyula abalala bangi ababonyaabonyezebwa ekirwadde kino.
Twagala okwongera ku mikisa gy’okusomesa egiriwo eri abasawo baffe abalala bwebatyo kibasindike okufaayo okusingawo ku balwadde b’ebirogologo nabo kibasobozesa okumyumirwa obulamu obusingako obulungi.
“Ffe” b’ani? “Ffe”, Ffenna!! Abalwadde, Abasawo, Ebitongole, Ggwe nange.
Buli eyeetaba mu lunaku lw’ebirogologo 2015, kitundu ku lulyo lwabannabirogologo.
Weereza wano ebifaananyi byo n’ebigwaawo oba ebibaddewo okwekakasa ky’otaddemu ggwe wennyini okugatta ku buwanguzi bw’okujaguza olunaku lw’ebirogologo 2015.
Olunaku lw’ebirogologo 2015 lusembeddwa era neruwagirwa bannaffe aba UNEV olulyo lwaba Nnabirogologo (the urticaria network e.V.) n’ebitongole bingi ebyenjawulo okwetooloola ensi yonna ebirafuubana okulongosa embeera n’okuwa obujjanjabi abalwadde abalina ekyoka n’ebirogologo.